Isaiah 56:10-12

10 aKubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,
bonna tebalina magezi,
bonna mbwa
ezitasobola kuboggola,
zibeera mu kuloota nakugalaamirira
ezaagala okwebaka obwebasi.
11 bEmbwa ezirina omululu omuyitirivu
ezitakkuta.
Basumba abatayinza kutegeera,
bonna abakyamye mu makubo gaabwe;
buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 cBagambagana nti,
“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
oba n’okusingawo.”
Copyright information for LugEEEE